Abakungu Ba FDC Baggaliddwa Lwa Mugumya

0
977

Police ya Jinja Road ekutte banna FDC babiri olwaleero ku kitebe kya Democratic Republic of Congo mu Kampala.
Harold Kaija amyuka ssaabawandiisi wa FDC ne Moses Awori bebakwatiddwa bwebabadde bagenze e Kololo ku kitebe kya Congo Kinsasha, okuwaayo okwemulugunya kwabwe nga bawakanya eky’okukumira munaabwe Sam Mugumya mu kkomera e Congo.
Emyaka giweze ebiri bukyanga Sam Mugumya ne banne bakwatirwa e Congo ne baggulwako ogw’okuyingira mu nsi eyo mu bumenyi bw’amateeka.

TagsFDC