Abamu ku Babaka Baziza Kompyuta za Paalimenti

0
1038

Ababaka ba palamenti abamu bazize bu komptuya obw’omungalo obumanyiddwa nga iPads palamenti bwetandiise okugaba olwaleero nga bagamba nti balina obusoboozi okubwegulira kale nti kuba kwonoona nsimbi za gavumenti okububagulira.
Mu buufu bwebumu ababaka ba FDC bakubaganye empawa ku kiteeso ekyayisiddwa akakiiko ka FDC akafuzi ekitangira ababaka baabwe okujjayo ssente za motooka ne iPads.