Abasomesa e Makerere Bazzeemu Okusomesa Akawungezi

0
736

Abasomesa ku kasozi Makerere kyaddaaki bejjuludde ne bakkiriza okuddamu okusomesa abayizi abasoma akawungeezi, oluvannyuma lw’akeddiimo akabadde kakutte mu wiiki ey’okubiri.
Abasomesa baasuulawo ennoni okuviira ddala ku ntandikwa ya wiiki ewedde, nga babanja University ezzeewo ensako ebaweebwa olw’okusomesa akawungeezi, University gye yaggyeewo.