Abavubuka Ba DP Bacankalanyizza Kkooti

0
1135

Bamusaayi muto ba Uganda young Democrats bazannye katemba mu kkooti ya Buganda road bwebabadde bazze okuwulira oba omulamuzi abakkiriza okuwoza nga bava bweru oba okubazza mu kkomera. Bano bawerennemba na gwa kusasamaza bantu bwebaakwatibwa nga batutte ekiwandiiko ekiwakanya ekiteeso ky’okwongera abalamuzi ku myaka kwebannyukira emirimu.

More News