Ab'e Bukasa Bagobye Landiloodi ku Ttaka

0
571

Police eyitiddwa bukubirire okukkakanya abantu abeesuddemu akambaayaaya okuwamba ettaka lyomukungu w’amakomera nga bagamba talina lukusa kulibeerako.
Basaanyizzaawo ne kalintunsu gweyali asimbyeko nga baagala beezimbirewo amayumba.
Abatuuze bano ababadde abakambwe okukira ennumba, balumiriza nti president y’eyabawa ettaka eryo balikolereko, oluvannyuma lw’okugobwa mu kibuga.