Abundabunda Bakweyongera Okuva e South Sudan UNHCR

0
649

Omukago ogutaba amawanga ag’obuvanjuba bwa Africa gwandiwalirizibwa okukaliga nnatti ku bakulembeze ba South Sudan abakaayanira obufuzi, okuli president Salva Kiir n’eyali omumyuka we Dr Riek Machar.
Minisita avunanyizibwa ku by’okwegatta kwa East Africa Julius Muganda, agambye nti bano singa bassibwaako natti osanga bajja kugonda bateese emirembe.
Omukago we guviiriddeyo nga Rieke Machar yaakamala okulangirira olutalo ku gavt ya Salva Kiir.