Amabanja G'eggwanga Gatuzza Emabega – Babaka

0
656

Ababaka balaze obweraliikirivu olw’engeri gavumenti gyeyeyongedde okwewola ebweru n’emunda mu ggwanga ekireesewo obwavu obw’olukonvuba mu bantu b’abulijjo.
Ababaka bagamba nti gavumenti esaanye yetereeze kuba eggwanga lyandigoberera amawanga amalala agaagwa edda. Ababaka babadde basisikanye minisita Matia Kasaija mu kakiiko ka paalimenti akalondoola ensaasanya y’ensimbi z’omuwi w’omusolo aka PAC.