Baguma Akomwewo mu Kkooti

0
796

Omulamuzi wa kkooti y’oku Buganda Road kyaddaaki ayongeddeyo okuwozesa kw’omusango gw’obutemu oguvunaanibwa omuserikale wa poliisi Aaaron Baguma mu kkooti enkulu ayongere okuttunka n’ogwokutta omukyala Donah Betty Katushabe.
Kino kiddiridde oludda oluwaabi okutegeeza kkooti nga bwelumaze okukungaanya obujulizi obumala okuluma abavunaanwa nti ddala beekobana n’ebawamba omugenzi, nebamubbako ebintu ebbimu kko n’okumutemula.