Bannyini Mikutu Bakkanyizza ku Kunoonyereza

0
648

Bannyini mikutu gya radio ne ttiivi wansi w’omukago ogubagatta ogwa National Association of Broadcasters bazze n’entegeka ez’enjawulo ez’okuteekawo ekitongole ekinoonyereza ku katale nga bwekali na mukutu ki ogukola kisobozese gavumenti n’abantu abalala okufuna ebifa ku mikutu gino ebifaanagana. Bino bituukiddwako mu nsisinkano etuuziddwa olunaku olwaleero.