Civil Aviation Authority: Eby;ennyonyi Bitabukidde Kagoro ne Mukula

0
1218

Ekitongole ky’eggwanga ekivunanyizibwa ku ntambula y’omu bbanga ki Civil Aviation Authority kyanukudde Capt. Mike Mukula eyemulugunya gyebuvuddeko nti kiremesa abantu ssekinnoomu abalina obusobozi obwenyigira mu mulimu guno nti era kyekivuddeko entambula y’omubbanga obuteeyongerako.
Okusinziira ku avunanyizibwa ku bisaawe by’ennyonyi n’ebyokwerinda mu kitongole kino John Kagoro, Civil Aviation Authority erina amateeka nga gano gali na ku ddaala lya nsi yonna, geegoberera nga tennawa muntu yenna lukusa kwenyigira mu mulimu guno.