Eby'e Makerere Tebinnaterera Bulungi

0
484

Enteseganya ezibadde zitegekeddwa wakati w’abakulira Ssettendekero wa Makerere n’abasomesa okugonjoola ensonga y’okusomesa abayizi olw’eggulo zigudde butaka nga abasomesa bagamba nti obubaka obubayita babufunye kikeerezi.
N’olwaleero abayizi abasoma olw’eggulo tebalinnyeeko mu bibiina wadde nga bannaabwe abasoma emisana emisomo gibatambulidde kinnawadda, ekinyiizizza ennyo abayizi abasoma olw’eggulo.