Ekibbattaka Ly'obusiraamu Kungi – Mufti Mubaje

0
1003

Mufuti wa Uganda Sheik Shaban Ramadhan Mubajje yeekokkodde ekibbattaka ly’obusiraamu ekisibuseewo ensangi zino, ng’ate libbibwa Bayisiraamu bennyini.
Bw’abadde mu kusaala Iddi Aduha ku kasozi Kampala mukadde, Mufuti agambye nti kya kwennyamira nti abeeyita abakkiriza ate be bakkidde ettaka ly’abasiraamu okulibba.
Mufuti era avumiridde ebikolwa eby’ekko ebyeyongedde mu baanadaamu, omuli ettemu, okusaddaaka abantu, abalya ebisiyaga, okusinza amasanamu, entalo mu maka n’ebivve ebirala

TagsEid