Ensonga Za Kibuule Zigenze mu Kabineti

0
1108

Gavumenti etandise okunonyereza ku minister waayo Ronald Kibuule agambibwa okuppacha omukuumi wa banka empi bweyali agezaako okumwaaza ngayingira Stanbic Bank e Mukono wiiki ewedde.
Saabaminista wa Uganda Dr. Ruhakana Rugunda agambye nti gavumenti ya NRM efaayo nnyo ku nneeyisa y’abakulembeze y’ensonga lwaaki egenda kunonyereze ku nsonga eno.
Ssaabaminisita Rugunda okwogera bino abadde aggulawo olusirika lwabaminister olugeenda okumala enaku bbiri ku Woteeri ya Serena eKigo.