Ezaali Ez'okugulira Ba Ssentebe Mmotoka Mmye

0
581

Abakungu ba minisitule ya Gavt ez’ebitundu n’olwaleero terubagendedde bulungi mu kakiiko ka Gavt akalondoola ensaasanya y’ensimbi z’omuwi w’omusolo.
Kumpi buli kibuuzo ekibuuziddwa ku alipoota y’omubazi w’ebitabo bya Gavt kibatuuyanyizza okuddamu, ekireetedde ababaka okwebuuza lwaki abakungu abajja mu kakiiko kano baba bapya mu minisitule zaabwe.
Abakungu babakunyizza ku vvulugu w’ebyensimbi eyali mu minisitule eyo mu mwaka gw’ebyensimbi ogwayita.