FDC Yeetegekedde Amadda Ga Besigye, Babalabudde

0
581

Bannakibiina kya FDC balangiridde enteekateeka ez’okwaniriza amukama wabwe Dr KIzza Besigye bw’anaaba adda ku butaka ng’ava e Bulaaya gy’akulungudde akaseera akawera.
BannaFDc nga bayita ku mikutu egy’enjawulo bakunze abantu babeegatteko ku ntujjo ey’okwaniriza omuntu wabwe.
Wabula poliiisi ya Uganda egambye nti yeekengedde aba FDC bano, nti bandibaawo n’olukwe olw’okutabulatabula emirembe, n’okucankalanya entambula ku luguudo lw’e Ntebe.