Kabaziguruka Akomyewo mu Kkooti Y'amagye

0
543

Omubaka akiikirira Nakawa Micheal kabaziguruka omulundi ogw’okubiri nate agaanye okuwozesebwa kkooti y’amagye ku musango ogw’okwegeza mu kuvuunika gavumenti ya NRM, akinogaanyizza nti ye si musirikale era tajja kuwozesebwa bannamagye.
Kabaziguruka okuguguba atyo abadde alabiseeko mu kkoti eno, okwandibadde okwewozaako ategeezezza kkooti nti agenda kujulira ng’awakanya kkooti enkulu eyasalwo jjuuzi nti awozesebwe kkooti eyo, kubanga yeekobaana n’abajaasi mu lukwe lwabwe.

More News