Kasasiro Waakufuuka Eky'omugaso

0
1148

Minisita w’amasannyalaze n’obugagga obw’ensibo Irene Muloni abuuliridde bannayuganda bakomye okumala gamansa kasasiro, naye bamukuume bulungi kuba asobola okukolwamu amasannyalaze.
Minisita agambye nti ng’oggyeeko amasannyalaze, kasasiro oyo bw’akwatibwa obulungi n’obutonde bw’ensi bukuumibwa, kuba amasannyalaze bwe gabaawo mu bungi n’abatema emiti okwokya amanda gakendeera.