KCCA Ezannye Leero ne Onduparaka

0
693

Kyaddaaki ttiimu ya Onduparaka efunye obuwanguzi bwayo obusooka mu liigi y’eggwanga eya Azam premier league bwekubye bannantameggwa aba KCCA goolo 2-1.
Goolo zino eziteebeddwa Shaban Muhammad zizze ku lunaku lwebatongozza n’ekisaawe kyabwe ekya Greenlight Stadium ekisangibwa mu kibuga Arua.
Liigi yakuddamu okutojjera olunaku olw’enkya nga Vipers ekyaaza Bull ate Sowana ettunke ne Kirinnya Jinja SS.