Mujja Kufuna Mumafuta – Rugunda

0
1064

Oluvanyuma lwa Gavumenti okugaba endangaano z’okusima amafuta ekyakolebwa sabbiiti eno ku bbalaza, banayuganda batandikirawo okw’esunga n’okulowooza ku byebagenda okufuna mu mafuta.
Wabula omukugu muby’enfuna Fred Muhumuza banayuganda abawadde gabuwa nti bave mukuloworeza mu mafuta wabula essira balisse ku nsonga yakwekolerera okwekulakulanya, kuba amafuta gakyayinza okukwatibwa obubi nebatafunamu, wadde nga kino sabaminista wa Uganda akiwakanya.