Museveni Ayogedde Ekyamulonza Kamya

0
977

President Yoweri Museveni ayatudde ensonga eyamulondesa Betty Kamya ne Florence Nakiwala Kiyingi ku bwa minisita ate nga ba ludda oluvuganya gavumenti.
Museveni asinzidde Kawempe n’annyonnyola nti abakyala abo bombi yabazuulamu ebirabo eby’enjawulo, ate nga bantu bakozi, era abalinamu essuubi nti baakuweereza bulungi.
Ekya president okuwa abakyala abo bombi obukulu kyewunyisa bangi, era na buli kati ensonga eyo buli omu agyogerera bubwe.