Obeembizzi Bazzeemu Okutiguka ne Poliisi

0
544

Abavubuka ab’ekisinde kya Jobless bazzeemu nate okusuula obubizzi ku paalimenti, nga ku mulundi guno obubizzi obwo babuwerebye langi ya kyenvu n’eya Blue, nga buli kamu bakawadde amannya g’ababaka ba paalimenti.
Abavubuka bano ku mulundi guno basazeewo okwekalakaasa n’obubizzi, okuvumirira omulugube ogwoleseddwa ababaka ba paalimenti, olw’ensimbi obukadde 200 ezigenda okubawebwa okwegulira emmotoka kapyata.
Abavubuka bano ababadde 2 poliisi ebakutte era egambye nti ya kubaggulako emisango egy’enjawulo.