Obukaba Bweyongedde Nnyo mu Bafumbo Omusumba Ssekamanya

0
664

Eyali omusumba w’essaza ly’e Lugazi Bishop Mathias Ssekamaanya yeekokkodde nnyo abazadde abasuuliridde obuvunanyizibwa obw’okukuza abaana babwe, omulimu gwonna ne bagutikka abasomesa.
Omusumba era avumiridde omuzi ogw’obukaba ogusensedde abafumbo ensangi zino, n’alabula abakkiriza nti bwe bateekomeko amaka gabwe goolekedde okusaanawo.