Okwetta Musango Gwa Naggoloma Poliisi

0
1145

Omusajja eyewanula ku kizimbe kya Mabirizi ku Kampala Road ne yeesula wansi ng’ayagala okwetta, ssinga katonda omussuusa ayinza okumala obulamu bwe bwonna mu kkomera olw’okuzza omusango ogwa naggomola.
Omusajja ono kati ajjanjabirwa mu ddwaliro ekkulu e Mulago poliisi egamba nti yazza gwa naggomola era beteefuteefu okumutwala mu kkooti.
Ono ye muntu ow’okusatu mu myaka ebiri okwekasuka wansi ababiri abasooka baafa, naye ono akyanyiga biwundu.