Olukalala Lw'abanywa Sukaali Lufulumye

0
545

Ekiteeso eky’okwongerayo emyaka gy’abalamuzi kifuuse kagiiko nnattabula, amasu gagamba nti ababaka baawebwa ekyogyamumiro basobole okukiyisa.
Omubaka akiikirira Kilak North Anthony Akol abotodde ekyama, nti ababaka baabagula buli omu kilo za ssukaali makumi 50, n’ensimbi enkalu akakadde kamu, bawagire ekiteeso ekyo nga kizze mu ddiiro.
Mu kiteeso kya Ssekitooleko ekifuuse Ndibassa, ayagala emyaka abalamuzi kwe baweerereza giggyibweko ekkomo, n’abakozi mu kakiiko k’ebyokulonda bongezebwe emyaka kwe bawummulira.