Oluyimba Lw'eggwanga Abasinga Balugegeenya

0
558

Oluyimba lw’eggwanga lwe bayita National Anthem, lwe luyimba olusiibwamu ennyo ekitiibwa, oluggyayo ekifaananyi ky’eggwanga n’ebyo bannansi bye bakkiririzaamu.
Olwa Uganda lwayiyiizibwa omugenzi George William Kakoma, lwongera okukkaatiriza nti wamma Uganda ly’ekkula lya Africa.
Ng’eggwanga lyetegekera okukuza olunaku lw’ameefuga olukwatibwa buli mwaka nga 9 Oct, kizuuliddwa nti bannayuganda abasinga obungi oluyimba lw’eggwanga tebalumanyi era tebalutegeera.