Olwa Sukaali Luttuse Buto mu Paalimenti

0
711

Embera yababaka ba paalamenti abateeberezebwa okugulibwa akasawo ka sukaali okuva e Mayuge kwossa n’ensimbi akakadde kamu eyongedde okwononeka oluvanyuma lw’ababaka abamu okuwandiikira sipiika Kadaga asseewo akakiiko akenjawulo kabanonyerezeko.
Ababaka bano nga bakulembeddwamu omubaka Mathias Mpuga ne Gerald Karuhanga bagamba nti ababaka bano battattana nnyo ekitiibwa kya paalamenti ela basaana bakanggavulwe olw’okuweebwa enguzi.