Omutuuze e Mubende Bamusulidde Omulambo Mu Nnimiro

0
486

Omuze ogwokutemula abantu ne basuulibwa mu nimiro ogubaluseewo e Mubende gusattiza abatuuze mu kitundu kino.
Olwaleero omulambo gw’omusajja ateeberezebwa okuba wakati w’emyaka 28 ne 30 gusangiddwa mu nnimiro y’omutuuze omu e Lusalira mu ggombolola y’e Kibalinga mu district y’e Mubende.