Omuwendo Gw'abalina Mukenennya e Kabale Mutono

0
1125

Namungi w’omuntu yeyiye mu kisaawe eky’eKabale okwekebeza endwadde ezenjawulo nga Mukenenya , kookolo ow’ebika ebyenjawulo era abazze bajumbidde nekyokugaba omusaayi mu kaweefube eyatandikibwawo ab’ekibiina ekivunanyizibwa ku mbeera y’obulamu bw’abavubuka ekya Reach A Hand Uganda nga kikolera wamu ne NBS TV. Bano era basibiriddwa entanda eyobutesembereza bwenzi okusobola okwewala Mukenenya.