Onduparaka Okukkuluma Lwa Okhuti

0
682

Nga Sc Villa ne Onduparaka FC bategeka okweriga mu liigi ye ggwanga eya Azam Uganda Premier league, aba Ondumparaka beekubidde enduulu eri FUFA nga baagala emalirize ensonga z’omusambi Ceasar Okhuti asobole okusamba omupiira guno ogusuubirwa okubaako n’obugombe.
Okhuti yeegatta ku Onduparaka omwezi ogwaggwa ku bwazike okuva mu KCCA, wabula ne guno gwaaka aba FUFA bakyamuganye okusambira tiimu eno.