Poliisi Eyooyoose Ekibuga Mubende

0
620

Abapoliisi ba Uganda bonna bali mu keetalo nga beetegekera olunaku lwabwe olwatongozebwa nga buli mwaka lukuzibwa nga 3 October.
Wano mu Kampala olwaleero abasirikale ba poliisi y’ebidduka bayisizza ekivulu mu Kampala, n’okwebuulirira ku bibasomooza mu mulimu guno.
Ate mu bitundu by’eggwanga ebirala abapoliisi bakyenyigira mu Bulungibwansi nga bayoyoota ebyalo, n’ebifo ebirala eby’olukale, mu kaweefube ow’okusemberera omuntu wa bulijjo.