Ssaabasumba Aggudde Olutalo ku Bupiira

0
658

Ssabasumba w’essaza ekkulu ery’e Tororo Dr Emmanuel Obbo asabye gavumenti ya Uganda okuyimiriza okuleeta kuno obupiira bu kalimpitawa nga agamba nti nabwo bukoze kinene okutumbula omuze ogw’obwenzi ekiviiriddeko ekirwadde kya mukenenya okwegiriisiza mu ggwanga. Ssabasumba Obbo agamba nti abantu balina kukubirizibwa kubeera beesigwa bwebaba bafumbo ate abatali eby’okwegatta babiwummule olwo olunnabe lwa mukenenya lwerunaatulibwa ku nfeete.