Ssekitoleko Ayagala Mubaka Munne Amwetondere

0
1045

Omubaka we Nakifuma mu paalimenti Robert Kafeero Ssekitooleko awadde mubaka munne ow’e Kilak North Akol Anthony essaawa 48 zokka nga avuddeyo okumwetondera wamu n’okumenyawo ebigambo byeyayogera nti yagulilira ababaka n’akasawo ka sukaali.
Mu kiseera kyekimu, omubaka Ssekitooleko era alabudde ababaka abamusojja olw’okulemera ku kiteeso ky’emyaka gyabalamuzi nga agamba nti addamu okumulumba, kaakumujjuutuka.