'Ssentebe' Akwatiddwa Lwakweyita Kyatali

0
1019

Eyali sentebe wa district y’e Busia Adea Ouma olusirika lw’abakungu ba gavumenti terumutambulidde bulungi bwakwatiddwa olw’okweyita kyatali.
Ouma okukwatibwa, kiddiridde omwami ono okwewandiisa nga ssentebe wa District ye Busia kyokka n’akataayi kabadde tekannasala, ssentebe wa district omutuufu naye n’atuuka era neyeyanjula.
Kireesewo obwezigoolo era oluvannyuma abakulidde eby’okwerinda nebalagira Adea Ouma akwatibwe agende abitebye ku poliisi.
Katemba ono abadde mu lusirika lw’abakungu ba gavumenti olugguddwawo olwaleero ku woteeri ya Commonwealth Resort Munyonyo.