Takisi Zadduka mu Ppaaka e Masaka Lwa Nkaayana

0
1084

Enkaayana ku by’ekifo ekituufu takisi z’omu kibuga Masaka wezirina okutikkira zikyalanda, w’owulilira bino takisi zaagaana okudda mu ppaaka okutikkirayo abasaabaze.
Kino okusinziira ku bali mulimu guno n’abakulembeze ab’enjawulo, kyaava ku kiragiro kya Pulezidenti kyeyayisa bweyali akyaanonya akalulu ekyayimiriza okusolooza ssente ku takisi ezitayingira ppaaka.
Ekiragiro kino buli omu yakitaputa bubwe era nga kizinngamiza n’omulimu gwa takisi sso nga gwegumu kwegyo egivaamu omusolo oguyimirizaawo ekibuga Masaka.