Tetulina Ssente Z'amazzi Baine Ow'ekkomera

0
1087

Ekitongole ekikulira amakomera kyewozezzaako nti si kiryazamaanyi nga bwe kyalambikiddwa ekitongole ky’amazzi, wabula bubulwa bwa nsimbi bwe buvuddeko akabasa.
Ekitongole ky’amazzi ekya National Water and Sewerage Corporation kyalonkomye ekiyongole ky’amakomera nti bakibanja ensimbi eziri eyo mu buwumbi 12, era essaawa yonna amazzi gaakubasalwako.
Abaddukanya amakomera bagambye nti si balyazamaanyi, naye obusente gavumenti bw’ebawa tebukyamala, era we byatuuka tebakyasobola kusasulira mazzi.