Wadada ne Jjuuko Batwaliddwa nga Bazira, Basambye Eza Uganda Cranes

0
510

Oluvanyuma lw’okusamba eddakiika zonna nga tiimu ye ggwanga the Cranes ekuba eya Comoros olunaku olw’eggulo, abasambi Murshid Juuko ne Nicolas Wadada olwaleero balagiddwa omukwano ogwensuso okuva mu bawagizi babwe ku kyalo gyebawangaalira eky’e Entebbe.
Abavubuka bano babukeezezza bwankokola okugenda okukima abazira baabwe e Mutundwe ku wooteri ya Serene gyebabade mu nkambi bukya batandika kwetegekera mupiira gweggulo.