Ab'oludda Oluvuganya Batabukidde Ab'ennyonyi

0
1012

Abababaka ab’oludda oluvuganya mu paalimenti baweze nga bwebagenda okuwaaba ekitongole ky’ennyonyi mu ggwanga eri ekitongole ekyensi yonna ekifuga entambula y’ennyonyi ku ngeri gyekyakolaganyemu ne poliisi okukwata Besigye nga yakava mu nnyonyi ate nga byonna ebyakozeseddwa byabadde bya kitongole kino ekya CAA.
Olunaku lweggulo, Dr Besigye bweyabadde yakava ku nnyonyi yakwatiddwa abantu ababadde mu byambalo bya CAA abataamuganyizza nakufuna migugu gyeyazze nagyo bwatyo natwalibwa okutuuka mu maka ge e Kasangati.
Wano ababaka webasinzidde okutegeeza nti ekitongole kino kyavudde ku mulamwa nga kati kyafuuse kya byakwerinda.