Kati Ebibinja Biweze Bisatu, Balwanira Ttaka e Wakiso

0
962

Olutalo luzzemu okukoya buto ku kyalo Namataba Kirinnya mu district ye Wakiso nga kigambibwa nti abatuuze beekobanye okutwala ettaka eligambibwa okuba erya Wycliff Kururagyire akola nga kkaminsona w’amakomera.
Ettaka eryogerwako riweza yiika 12 era nga abatuuze batandikidde ku kalintusi gweyasimba gwebatandise okutema.
Kyokka nabo bagamba nti liizi ye yaggwako dda nga kale obuyinza ku ttaka baabweddiza.