Disitulikiti Ezimu Tezikoze Bulungi ku Silimu Bakugu

0
1165

Newankubadde ensimbi nyingi eziteereddwa mu kaweefube w’okulaba nga omuwendo gw’abaana abazaalibwa n’akawuka ka mukenenya gukendera, kizuuliddwa nti waliyo district eziwera amakumi 25 mu mambuka ne mubuvanjuba ezikyalemereddwa okulwanyisa ekimbe kino.
Mu district zino, ba maama abalina akawuka ka mukenenya bakyaazalira ddala abaana abalina obulwadde obwo olw;enteekateeka yokuziyiza kino obutabaayo.
Kino kileesewo okutya oba nga ddala Uganda enasobola okumalawo okusaasanya akawuka ka mukenenya omwaka 2030 wegunaatukira kyokka nga y’emu ku ndagaano Uganda zeyakola okulwanyisa siriimu.