Bannamawulire Nate Tebazze mu Paalimenti

0
1119

Nate emikutu gyamawulire egyayitibwa okulabikako mu kakiiko ka Paalimenti akakwasisa empisa giremereddwa okweyanjulayo era nga bano bagamba nti akakiiko kano tekalina buyinza bubawozesa.
Wabula ababaka kino kibaggye mu mbeera era bwebatyo nebagiwa omukisa ogusembayo okweyanjula nga ssinga balemererwa okulabikako mu kakiiko kano omulundi ogw’okusatu kaakubajjuutuka.