Aba China Bakomezzaawo Ez'enguudo

0
605

Agafubutuse mu paalimenti gagamba nti Abachina abaali beezibise sente ez’okuliyirira bannayuganda abayitibwamu enguudo baaludde ddaaki ne bapondooka sente ne bazizza.
Ssentebe w’akakiiko ka paalimenti akalndoola emirimu gy’ebitongole bya gavumenti Abdula Katuntu agambye nti abasajja bano baakutte obuwumbi 26 ne babuzza, kyokka waliwo kampuni emu eremereddwa.
Abachina baweebwa sente ez’okuliyirira abantu, kyokka mu ngeri ey’olukujjukujju baasooka kuzitwala mu bbanka ne bazoozaamu.