Aba UNRA Bakunyiziddwa ku Kkampuni Z'aba China

0
1110

Akakiiko akalondoola entambula y’emirimu mu bitongole bya gavumenti katadde abakungu b’ekitongole kya UNRA ku ninga bannyonyole ensonga lwaki babadde beekobana okusasula obuwumbi bw’ensimbi eri kkampuni gyebataakolagana nayo mu mulimu gwonna.
Ababaka bakunyizza abakungu bano ku nsimbi ezaali ez’okuzimba oluguudo lw’e Kanoni –Sembabule n’olwa Hoima-Katunguru nga kigambibwa nti ensimbi zaawebwa kkampuni y’aba China abataali mu contract ate n’omulimu nebatagukola bulungi.