Ababaka Baagala Paalimenti Eve mu Luwumula Lwa Besigye

0
978

Ensonga y’a Poliisi okwongera okukuumira Dr Kizza Besigye mu maka ge n’okumukugira okwetaaya efuuse Namulanda nga amabeere g’embwa era nga wowulirira bino ababaka bandiva mu luwummula lwebalimu nebakomawo mu paalimenti okugikubaganyaako ebirowoozo.
Kino nno kiddiridde ababaka ba paalimenti abali ku ludda oluvuganya gavumenti ababadde bakulembeddwa omubaka wa Mukono Betty Nambooze Bakireke okusaba ababaka bayitibweyo mu luwummula bateese ku nsonga y’eddembe lya Besigye ely’obuntu lyebagamba nti lirinnyiriddwa nnyo awatali nsonga nnungamu.