Ababaka Bayise Nabbi Kakande ku By'omu Lwera

0
1217

Paalimenti etumizza omusumba Samuel kakande asumba ekkanisa ya Synagogue Church of all Nations agende mu paalimenti abitebye.
Kakande oluusi gwe bayita Nabbi, kigambibwa nti yawebwa olukusa okulunda ebyennyanja mu mugga Lwera, naye okwandibadde okulunda eby’ennyanja ate yadda mu kusima musenyu, ate n’omusenyu gw’asima agutunda bunaayira.
Ba puliida ba kakande abakuliddwa Mayanja Nkangi bafubye nga bwe basobola okuwolereza kino naye ababaka ab’akakiiko akalondoola emirimu gy’ebitongole bya gavt tebamatidde, kwe kulagira Kakande yennyini yeetuukire.