Abacayina Balagiddwa Bazze Ssente Z'enguudo

0
1079

Paalimenti etabukidde kampuni z’Abachina ezaapatanibwa okukola enguudo ez’enjawulo, babalagidde mu bwangu n’embiro bakommyewo ensimbi obuwumbi 30 ezaabawebwa okuliyirira abantu abagenda okuyitibwamu enguudo kyokka ne batabasasula.
Kyazuulibwa nti Abachina bano mu kifo ky’okusasula abantu, sente ezo baazitwala mu bbanka ne bazooka bazoozaamu, era kigenze okuzuulwa nga bakoze amagoba mangi.
Ababaka abatuula ku kakiiko akalondoola emirimu mu bitongole bya gavumenti babalagidde sente ezo bazisasule leero nga terunnaziba, era ne basalawo nti kampuni zabwe teziddamu okuwebwa omulimu gwonna.