Abadde Abba Ekyalo Bamukumyeko Omuliro

0
602

Okuvaako e Mubende abatuuze ku kyaalo Kabowa tebawena, bakutte omuvubuka gwe bateeberezza okubba bodaboda, bamukubye ne bamutta n’omulambo ne baguteekera omuliro.
Abatuuze bagamba nti omuvubuka oyo yali yava dda ng’abajojobya era babadde bamulinnya kagere, okutuusa lw’abagudde mu ttaano.