Abakungu Aba ' Immigration' Bibasobedde

0
909

Abakungu b’ekitongole ekivunanyizibwa ku bantu abayingira n’okufuluma enggwanga batuuyanidde mu kakiiko akalondoola ensimbi z’omuwi w’omusolo, gye baayitiddwa okunnyonnyola ku bitagenda bulungi mu kitongole kino.
Ebisinga ku bino byafulumira mu alipoota y’omubazi w’ebitabo bya gavumenti ey’omwaka oguwedde, eyazuula okubulankanya obuwumbi bw’ensimbi saako emivuyo egyetobeka mu nteekateeka ey’okuwa bannayuganda endagamuntu.