Abalamuzi Bakungubalidde Mafabi

0
902

Ssabalamuzi Bart Katureebe alabudde ku ffujjo elyeyongedde ensangi zino erikolebwa munda n’ebweru wa kkooti nga agamba nti kuno kuba kumenya mateeka agafuga kkooti.
Ssabalamuzi ayongeddeko nti gyebujja tebajja kutuula butuuzi nga kkooti eyisibwa nga ekitali kya mugaso era bakuggula nga emisango kubantu abatassa kitiibwa mu mbuga z’amateeka.
Bino nno abyogeredde mu mmisa y’okusabira omwoyo gw’’omulamuzi Richard Mafabi eyafa ku nkomelero ya wiiki ewedde.