Abatembeeyi Batabudde Kamya ne Lukwago

0
937

Olutalo olw’okugoba abateembeyi n’abatundira ku mbalaza z’amaduuka mu kibuga Kampala lulinnye enkandaggo ng’enjuyi ezikwatibwako ensonga eno okuli gavumenti, abakulembeze mu kibuga n’abakulira abasuubuzi bakubagana empawa ku nsonga y’okugoba abatembeeyi ku nguudo.
Kino kijjidde mu kiseera nga abasuubuzi balaajana olw’abatembeeyi okubalemesa okukola kyokka nga n’abakulembeze mu kibuga bagamba nti tebwabadde buvunanyizibwa bwa minisita wa Kampala okuyisa ekiragiro kino.
Munnaffe Esther Namutamba alondodde ensonga eno okuviira ddala gyeyatandikira okutuusa olwaleero…