Abatuuze Basiibye Beegoba ne Poliisi e Kirinnya

0
602

Abatuuze b’e |Bukasa Bwoyogerere olwaleero bazzeemu nate okusindikagana ne poliisi ku nsonga z’ettaka.
Abantu abawera nga 5 balumiziddwa oluvannyuma lwa police okubakubamu omukka ogubalagala n’amasasi mu bbanga okubagumbulula.
Abatuuze bano baludde nga bagugulana ne Wycliffe Kururagye omukungu akola n’ekitongole ky’amakomera, nga bamulumiriza okwekomya ettaka lyabwe.